|
0 |
|
ebintu bizibu okimanyi maama womwana oyo yeetuze lwa bbaawe kuwasa mukyala mulala |
|
1 |
|
tugenze mu kkanisa naye omubuulizi atulangidde okusaba ku nnaku enkulu zokka |
|
2 |
|
bwolaba omuzeeyi nga akyattunka nokunoonya ssente omanya nti teyateekerateekera bulungi bukadde bwe |
|
3 |
|
omunnyo gwa leero nga gukaawa nnyo |
|
4 |
|
oteekeddwa okutabula obulungi eddagala eryo nga tonnaliwa mwana oyo |
|
5 |
|
abakyala bonna abasatu be nnina bakolagana bulungi era buli omu afaayo eri munne |
|
6 |
|
omulenzi oli ye mutuufu okusikira omusajja ono |
|
7 |
|
ekikajjo kimu ku birime ebirimu ssente ennaku zino |
|
8 |
|
kika kyamenvu ki ekisinga okukuwoomera |
|
9 |
|
tombuulira bigambo bya mukazi oyo kuba nnabikoowa |
|
10 |
|
baamukutte atoloka ne bamutuma ssengenge wa mirundi ebiri |
|
11 |
|
nze nnabadde ssaagala bakimanye nti mbeera wano |
|
12 |
|
wabula ekirwadde kya ssenyiga kikaabizza nabantu abakulu amaziga |
|
13 |
|
olaba nekitabo ekitukuvu kigamba nti ataakole nokulya taalyenga |
|
14 |
|
oba lwaki amaaso gannuma nnyo |
|
15 |
|
ate kati olwo gwe ogenda kukola otya |
|
16 |
|
enzijanjaba yekinnansi eyedda yali nnungi okukira eyensangi zino |
|
17 |
|
abaana abaliwo ebiseera bino tebafaayo ku nsoma yaabwe |
|
18 |
|
olowooza nti ku magezi ne ssente ki ekisinga |
|
19 |
|
ekirwadde kino kitadde nnyo abantu ku bunkenke |
|
20 |
|
okuva ssentebe lwe yatwaliddwa mu mmotoka tanaddamu kulabika |
|
21 |
|
omuyizi wange gwe nnaleese okusomera wano nga simulaba |
|
22 |
|
omusomesa waffe eyali atusomesa olufalansa takyajja ku ssomero |
|
23 |
|
mukasa abadde kyajje agende mu kibuga enkuba netandika |
|
24 |
|
kirungi okuwa abantu abakulu ekitiibwa |
|
25 |
|
mukama waffe mutiitiizi atya nokusalawo kyova olaba nga tetugenda mu maaso |
|
26 |
|
otera okulya ku bibala |
|
27 |
|
omukyala oli yasooka kuggyamu ssente ze nga tannatwazika mmeeza |
|
28 |
|
empuliziganyayo nabakozi mu kampuni yo kye kigireetera okukula oba okugwa |
|
29 |
|
omusango gwe baamuvunaanye nti yaguzza emyaka kkumi emabega |
|
30 |
|
nze sejjusa kugenda bweru kukola kuba buli kye nayitamu katonda yali yakimpandiikako dda okukiyitamu |
|
31 |
|
omusajja tabalirwa nzaalo |
|
32 |
|
ekyuma kya kasooli kikutte omuliro |
|
33 |
|
njagala nnyo okulya ewa namwandu kuba amanyi okuyonja obulungi akafo ke |
|
34 |
|
nga leero tonzuukusizza |
|
35 |
|
bwoba oyagala omwana abeere mukwano gwo tomukuba |
|
36 |
|
yazirika oluvannyuma lwokumugamba nti omwami we yawasa dda namba bbiri |
|
37 |
|
owulira otya nga bagamba nti omwana oyo wuwo |
|
38 |
|
buli muntu afuba nnyo okukola abeereko obulungi mu nsi eno |
|
39 |
|
mu buli mbeera yonna omuntu asaanye akozese obwongo bwe |
|
40 |
|
enkoko ensiike empoomera nnyo nnaddala nga temuli ssupu |
|
41 |
|
ani amanyi okutontoma ku mmwe abali wano |
|
42 |
|
okumalako ensangi zino oyina kuba mukujjukujju |
|
43 |
|
wano we muleese omulwadde wammwe tewaliiwo ddagala |
|
44 |
|
bwe kakutanda ne nsanga omulenzi oyo ewaka onguddeko |
|
45 |
|
nalumiddwa nnyo okusanga ente yange evaamu amata amangi ngefudde |
|
46 |
|
obusuuka buno nabwo mubwoze |
|
47 |
|
nina okusiga ensimbi zange zonna nsobole okufuna ezisingawo |
|
48 |
|
abaana abawala batuula bokka ku luuyi olumu nabalenzi ku lwabwe |
|
49 |
|
ekigambo kirina kubeera ssuubi so si ssubi |
|
50 |
|
yasanze omusota mu kaabuyonjo |
|
51 |
|
olowooza okubeera nemmotoka kwe kubeera omugagga |
|
52 |
|
omukazi eyeebikkirira aweebwa nnyo ekitiibwa mu bantu okusinga ateebikkirira |
|
53 |
|
abantu abataasoma nabo bamanyi ebyobuwangwa |
|
54 |
|
okulunda enjuki kusobola okkukolera ssente oba okufuuka bizinesi yo |
|
55 |
|
banzigyako essimu nga nvuga emmotoka nneme kutegeera ku kumbikira kwa taata |
|
56 |
|
byonna tubeera twetaaga okubimanya kubanga tubeera nekigendererwa |
|
57 |
|
nakuloose ekiro nga tutudde wali wansi womuti gwomuyembe |
|
58 |
|
katikkiro mwagala nnyo kuba atukubiriza buli kadde okubeera abakozi ennyo |
|
59 |
|
namulaba ngagoba loole |
|
60 |
|
lwaki mukuba abaana ababeera boogera olulimi oluganda |
|
61 |
|
lwaki entebe za muno zonna nzirugavu |
|
62 |
|
omuvubuka oyo mukozi nnyo |
|
63 |
|
omusajja eyakoze akalango ako oba yabadde ku ki |
|
64 |
|
okimanyi nti ebintu bye wampimira omulundi oguwedde tebyawera |
|
65 |
|
abantu boludda lwa mukyala wange banjagala nnyo |
|
66 |
|
ku nkoko zange olukumi ababbi bandekeddewo kikumi kyokka |
|
67 |
|
nze ku lwange ndowooza nti tuli wano kuyiga |
|
68 |
|
omuwanguzi wempaka zino alina okuba nga ataddemu nnyo amaanyi |
|
69 |
|
bwoba wakwekebeza ndwadde yobukaba ngoli mufumbo genda ne mukyala wo |
|
70 |
|
ani yatwala gomesi yange gye mbadde nsuubira okwambala enkya |
|
71 |
|
bwoba tolina bigambo bituufu bya kukozeseza mu bantu sirikanga busirisi |
|
72 |
|
muwogo era atawanyizibwa ebisolo ebimutakula okumulya |
|
73 |
|
enjovu kisolo kinene nnyo lwakuba ate kirina akakira akatono |
|
74 |
|
mukwano gwange yagenda mu bifo byabasawo bekinnansi okwetegereza engeri gye bajjanjabamu |
|
75 |
|
ate era si kulima kwokka nokulunda nakwo kugasa mu nfuna yomuntu okuyimirizaawo abantu be |
|
76 |
|
omuntu aggyayo ekiso oba ejjambiya nagalulira muntu munne nga tatiddeemu kumulesa bantu be |
|
77 |
|
olaba akawuka ka korona katagaza amawanga ga nnagwedda ate olwo gano agaffe |
|
78 |
|
ebitundu ebisinga obulungi mu nnunda yenjuki byebyo ebitafuna nnyo nkuba |
|
79 |
|
akabanje akaagudde mu kifo kiri wakategeddeko |
|
80 |
|
omwana oyo obuwanguzi bwe abujje mu kwesiga mukama katonda |
|
81 |
|
kizibwe wange namugamba si kirungi kwewola ssente nga tolina mwogenda kuziteeka |
|
82 |
|
ezo zonna nkiwa zaali nteekateeka za mukama |
|
83 |
|
okkirizibwa okutuuka mu kifo kino singa obeera mukozi |
|
84 |
|
amafuta agawunya wano olowooza gavudde wa |
|
85 |
|
ente yange ebadde esinga okumpa amata eridde akaveera |
|
86 |
|
okuyita kwa naluwuge kuva ku kusoma nnyo bitabo |
|
87 |
|
omukyala oli agambye ogende mwogeremu alekere awo okutubuuza ebibuuzo ebingi |
|
88 |
|
obudde bunaatera okuziba |
|
89 |
|
omusajja abadde atambula nayasimula ababadde bamwetoolodde bonna badduse emisinde |
|
90 |
|
katonda asaasidde abe kenya omulwadde wabwe owa corona atandise okuwona |
|
91 |
|
akawala ako kakwano kange naye kalimba nnyo mu mboozi zaako |
|
92 |
|
okumanya kwange okutono kundaga nti obugagga bantu |
|
93 |
|
teweefuula nti gwe asinga obugezi mu kizimbe kino kyonna |
|
94 |
|
nabadde nkukubira essimu kkutegeeza nti ngenda bweru ekiro kya leero |
|
95 |
|
owange okimanyi nti emikolo gyokwanjula egyennaku zino gya kweraga bwerazi |
|
96 |
|
tosaanye kupapa kubanga okyalina obudde bungi nnyo |
|
97 |
|
kati omuntu yenna alina ssenyiga ateeberezebwa okuba ne corona |
|
98 |
|
obadde ogenda kukola ki |
|
99 |
|
omuwala oyo ayambala bulungi naye alemeddwa okufumbirwa |
|
100 |
|
mwenna musooke mufulume ono amalirize okwera ekibiina kino nga bwe nnamugambye |
|
101 |
|
amaduuka gaggalawo mangu |
|
102 |
|
mu nzijanjaba yekinnansi obusawo bwagobereranga muntu abaana nabazzukulu |
|
103 |
|
omuliro ogwakutte ennyumba ezineetoolodde gwa nneeraliikirizza nnyo |
|
104 |
|
yawadde mukyala we ekirabo ku lunaku lwamazaalibwa ge |
|
105 |
|
obadde okola mulimu ki |
|
106 |
|
ngabakazi bwe baagala okubayambako ewaka nabasajja mubayambeko mu kuyingiza |
|
107 |
|
obadde okimanyi nti ye gwe muntu gwe nsinga okwegomba |
|
108 |
|
obadde olowooza ani agenda okkukolera emirimu gyo |
|
109 |
|
omuyembe ogwo guwooma nnyo |
|
110 |
|
oba lwaki buli ddagala lyomusujja liba likaawa nnyo |
|
111 |
|
wuzi ezitunga engatto ngumu nnyo okusinga ezitunga ebitambaala |
|
112 |
|
nalowoozaako nti oba bankyusiza abaana mu ddwaliro anti bonna baddugavu ate ffe nga tuli beeru |
|
113 |
|
omuvubuka owekiwago abadde atambula ngagaziwa akubiddwa amasasi |
|
114 |
|
ensowera esaasaanya endwadde |
|
115 |
|
tewali buwanguzi awatali kusooka kulemererwa |
|
116 |
|
abasaabaze abataagala kusasula bakumalako emirembe |
|
117 |
|
abayizi bange bonna tebamanyi lungereza |
|
118 |
|
ekibadde wano kibadde kibi nnyo |
|
119 |
|
bwe yawulira ekivuze yatya nnyo nakacupa akaamuli mu ngalo ne kagwa |
|
120 |
|
olunaku lwembaga yaffe lutuuse |
|
121 |
|
olugambo abakyala baalufuula mulimu |
|
122 |
|
enzikiriza yange tekkiriza bakazi basukka basatu |
|
123 |
|
obadde nno ogezezaako okufaayo okusoma emboozi eziri ku lupapula |
|
124 |
|
ku bawala abo ababiri abajja olowooza ani asingako obulungi |
|
125 |
|
buli lwogema embuzi mu kiseera ekituufu oba otangira obulwadde obwandizirumbye |
|
126 |
|
omusawo abadde akola ki |
|
127 |
|
oba abaana ba wano baalaze wa |
|
128 |
|
engoye zonna ze yabadde ayanise eggulo baazibbye |
|
129 |
|
ensi wetuuse eweddemu ensa olaba noyo omusajja omukakkamu yatandika obubbi |
|
130 |
|
buli kawungeezi tugenda ku kiyungu okufuna amazzi gokunywa |
|
131 |
|
ensi erabika etuuse ku nkomerero kuba ebitusomooza mu bulamu biweze |
|
132 |
|
yiika yettaka esobola okugendako ebikolo bya muwogo ebiri wakati wakasanvu nomutwalo |
|
133 |
|
okimanyi nti abasomesa ku masimu gaabwe kubeerako mitwalo gya ssente |
|
134 |
|
si kya bbeeyi nnyo okutandika okulunda embuzi |
|
135 |
|
essimu yange yagudde mu mazzi kati tekyakola |
|
136 |
|
okufuna obuwunga bwa muwogo olina kuba nga omwanise akabanga navaamu amazzi gonna agamulimu |
|
137 |
|
tandika okusima ebinnya |
|
138 |
|
nali mwagala nnyo naye nga teyeefiirayo |
|
139 |
|
obukundi bwababbi bubeera bungi mu biseera nga tugenda okulonda |
|
140 |
|
ennaku zino ensi yaffe yakwegendereza nnyo kuba ekiwambabantu kisusse |
|
141 |
|
entimbe zotadde mu maddirisa zirabisizza bulungi ennyumba |
|
142 |
|
omulimu guno mukulu nnyo eri buli muntu ali wano |
|
143 |
|
oluganda lumu ku nnimi ezisinga obugagga mu uganda |
|
144 |
|
ensi ekyakula ebeeramu obuvuyo mu bukulembeze bwayo |
|
145 |
|
embeera etuuse ku ggwanga lino mbadde sigirabangako |
|
146 |
|
omuwandiisi omulungi alina kubeera na bitendo ki |
|
147 |
|
mulimu ki gwobadde okola ku kyeyo |
|
148 |
|
abafumbo abaalwana luli wabalaba |
|
149 |
|
eddagala lye baamuwa lyali terisobola kumuwonya musujja |
|
150 |
|
nze sijjukira na kujjukira we twakoma nga twogera |
|
151 |
|
abasirikale baatubuuzizza empapula ezitukkiriza okutambuza ebisolo |
|
152 |
|
enzikiriza zonna ezitali ya busiraamu tezikkiriza musajja kuwasa mukazi asukka omu |
|
153 |
|
wadde nga twagala nnyo amasanyu naye nobulamu tubufeeko |
|
154 |
|
amaziga gamuyiseemu nga bamubikidde muganda we abadde abeera ebweru |
|
155 |
|
ebintu ebisinga mu nsi nga eno eyaffe tuyiga biyige |
|
156 |
|
ennaku zino nabatikiddwa e makerere bavuga booda booda |
|
157 |
|
baatugambanga nti bwokuula erinnyo emmese ekuwa ssente |
|
158 |
|
saabadde na ssente zimala |
|
159 |
|
kino ekitundu kuva dda kimanyiddwa ku kulima ennyaanya |
|
160 |
|
eyabadde abbye omwana baamaze ne bamukwata |
|
161 |
|
ssente yonna eyokwewola si nnungi kuba ezaala obuzibu mu kugizzaayo |
|
162 |
|
abantu essaawa ze beesiba nnyingi naye nga nkyupule |
|
163 |
|
mbade sirabangako mbuzi nnene ngeyo etundibwa emitwalo nkaaga |
|
164 |
|
okimanyi nti kati embeera yobudde etaataaganya nnyo abalimi |
|
165 |
|
bwosukka wano omanya nti sigenda kukusasula ssente zo |
|
166 |
|
ebintu bye tubadde tusuubira okufuna tetubifunye |
|
167 |
|
tulina okuyamba abo bonna abali mu buzibu |
|
168 |
|
ddi lwe twatuula kuba nze sijjukira |
|
169 |
|
abayizi bano bateekeddwa okweyisiza obulungi ku bannaabwe |
|
170 |
|
omusomesa akubiriza ennyo abaana ku ssomero bamukyawa |
|
171 |
|
bwova mu kibuga kyaffe omwezi gumu gwokka osanga kikyuse nnyo |
|
172 |
|
ebiseera bino bya bwerinde mu nsi yonna |
|
173 |
|
ekyo kye wakoze nabadde sikikusuubirizaamu munnange |
|
174 |
|
oteekeddwa okuwuliriza bantu abakulu nga boogera |
|
175 |
|
obadde okimanyi nti mu ndwadde ezikwata omuntu olwobukyafu mulimu ekiddukano |
|
176 |
|
nkyanoonya ensonga lwaki mukyala wange asinga kuba na mikwano gya baana bato |
|
177 |
|
wamma nnyabo kyokoze kye kiragirwa okunaaba engalo nga tonnakwata omwana eyakazaalibwa |
|
178 |
|
funayo abalenzi bakusitulireko entamu zemmere zino |
|
179 |
|
mukwano gwange yali mugezi nnyo era kyampalirizanga okumwebuuzaako |
|
180 |
|
amazzi ago tegalimu birungo byetaagisa mu mubiri |
|
181 |
|
nabbosa aba yeddira ndiga mu bika byabaganda |
|
182 |
|
obukugu bwa tekinologiya butuyambye okutondawo ebika bya muwogo ebitakwatibwa mangu bulwadde |
|
183 |
|
tumenyereyo ebintu ebyenkizo byolina ku bantu abalala |
|
184 |
|
saagala kulaba mwana oyo ngakaaba |
|
185 |
|
piki piki zemipiira esatu ziyambye nnyo mu kutambuza ebyamaguzi |
|
186 |
|
gwe kati ekyo kyakuyigiriza ki |
|
187 |
|
abakazi abasalawo okugezza amabeere kibeera kibi nnyo |
|
188 |
|
olusuku olwo luvaamu amatooke amanene ate nga ganyirira |
|
189 |
|
si kirungi mukyala kwekuba kalifuuwa kuba aba asikiriza abasajja okumulaba |
|
190 |
|
faayo nnyo okulaba nga abantu bokulembera bakwenyumirizaamu |
|
191 |
|
abatuuze basattira lwomwana wessomero okusaddaakibwa |
|
192 |
|
ekifo ekisinga obukulu mu kibuga okimanyi |
|
193 |
|
ekibadde kimuleetera omusujja omusawo akizudde |
|
194 |
|
katonda yamuwa ekitone kyokuzina naye yagaana okukikozesa okubaako kyatuukako |
|
195 |
|
ekirwadde kirudde ebbanga nga kitubala embiriizi |
|
196 |
|
banka zandikendeezezza ku magoba ge ziteeka ku looni |
|
197 |
|
ako akantu kakunyumidde nnyo bambi |
|
198 |
|
mpaayo omunaanaansi gwa siringi lukumi |
|
199 |
|
ate era omukyala yenna omuzito tasaanye kukola mirimu minene |
|
200 |
|
osaana oyige bwe bakola ssente olwo oyige engeri gye bazitereka |
|
201 |
|
lwaki ogenda mu kibuga |
|
202 |
|
lwaki toyagala kwambala ssaati njeru |
|
203 |
|
obwenzi obungi ennyo ensangi zino buvudde ku bazadde kusala bintu ku buko |
|
204 |
|
teesa buteesa nga toyomba |
|
205 |
|
tusaba omukama katonda atukwatirwe ekisa |
|
206 |
|
obwedda alinda obubaka ku ssimu alyoke atambule kyokka ngessimu ye yazikidde dda |
|
207 |
|
wamma kituufu embwa bwekuluma otandika okuboggola |
|
208 |
|
omwana azannye akazannyo ko ku ssimu nakawangula |
|
209 |
|
munnange abalwadde bakusobera bwamala okuwona tayagala kusasula |
|
210 |
|
abaaleeta omwana eyali yazaalibwa omugenzi ebbali baali bakambwe |
|
211 |
|
mu butuufu omubbi kibadde kimugwanira okusibwa emyaka gye gyonna gyasigazza ku nsi |
|
212 |
|
nja kusooka kujja nkulabe |
|
213 |
|
enkolagana wakati wabasawo bekinnansi nabazungu eri nti bonna basooka kutendekebwa |
|
214 |
|
kyova olaba katemba wo oyo yantama emyaka mwenda gyomuzannyidde omufunyeemu ki |
|
215 |
|
edda nga tukyali bato baatugaananga okutuula ku masiga |
|
216 |
|
ekibumba kye kitundu ekisinga omugaso mu mubiri gwomuntu |
|
217 |
|
ekikongoliro kisobola okkukuula erinnyo singa oba okirumye |
|
218 |
|
mu kulunda embuzi kikulu nnyo okumanya ekika kyogenda okulunda |
|
219 |
|
mugambye ngampakanya nti omwana atannaweza myezi mukaaga taweebwa mmere |
|
220 |
|
ani mukyala womukulembeze weggwanga |
|
221 |
|
sivumirira ddagala lya kinnansi naye eddagala lyabwe erinywebwa lyonoona nnyo ekibumba |
|
222 |
|
abakazi nno ennaku zino nga beefunyiridde emirimu egyaali egyabasajja |
|
223 |
|
ani asobola okutuwandiikira erinnya lye ku lubaawo |
|
224 |
|
bwolima ddoodo tewejjusa kuba kasita amera onoga bunozi okutuusa lwolikoowa |
|
225 |
|
omuddo ogumu mu nnimiro gukola nga enva |
|
226 |
|
mbadde nkuleetedde ebintu bingiko naye babikwatidde ku kisaawe |
|
227 |
|
abadde yeebuuza ekikaabya omwana naye akizudde ngomwana alumizibwa mu kutu |
|
228 |
|
abantu bonna bano balabika nga bayala nnyo |
|
229 |
|
oteekwa okuba nga okoze bulungi okuweebwa ekifo wano |
|
230 |
|
olubuto lwa nnyoola nga mizze eddagala nga siridde |
|
231 |
|
mpulira nga neesunze ennyumba empya gye tugenda okuzimba |
|
232 |
|
abalenzi abo bambala bulungi nga bagenda mu wooteeri ennungi |
|
233 |
|
olunaku lwo olwasooka ku ssomero lino lwali lutya |
|
234 |
|
amasannyalaze gayise mu laadiyo yange kati tekyayogera |
|
235 |
|
essanyu limbugaanye nga mpulidde obubaka ku ssimu nga ndowooza nfunye ssente |
|
236 |
|
nze mbadde njogera ku ssimu |
|
237 |
|
ekisuubizo kye weeyama okakasa wakituukirizza |
|
238 |
|
okufa kwayitirira ne bwe weesibira mu nnyumba okuli ekikomera ekiwanvu era kukusangayo |
|
239 |
|
lwaki abantu abasinga beeyisa bulungi nga bali mu kisiibo |
|
240 |
|
oba lwaki abantu abatalina ate be basinga okugula ebyebbeeyi |
|
241 |
|
mpitira ku musajja oyo atunda ebinyeebwa anguzeeko kko |
|
242 |
|
baleese ebyokuzannyisa byabaana ku ssomero kata abaana bagaane okudda ewaka |
|
243 |
|
obutunda bwange bwonna bukaze |
|
244 |
|
endiisa yembuzi ennungi yezireetera okulabika nokuba obulungi |
|
245 |
|
ebyo byonna ebintu muleese bya ki |
|
246 |
|
otunula ngomulwadde |
|
247 |
|
omutamiivu abeera nga eyeebase naye nga ategeera bulungi nnyo |
|
248 |
|
ayina emiti gyemiyembe ebitooke nemicungwa egisoba mu lukumi |
|
249 |
|
kansuubire mwakubidde buli omu ateekeddwa okujja mu lukiiko luno |
|
250 |
|
ani yakyusa empapula zange naziggya mwe nnazireka |
|
251 |
|
ennaku kati ziweze kkumi na ttaano okuva lwe baggala amasomero |
|
252 |
|
abantu abagagga tebagwa nnyo mu mukwano na kintu kyonna akyeggyako wonna wayagalira |
|
253 |
|
guno omulimu tujja kusobola okugukola |
|
254 |
|
omuvubuka yenna alina ebirooto ebirungi abeera wa mulembe nnyo |
|
255 |
|
enjala ebadde egenda kututta |
|
256 |
|
empale eno nagigula ssente nnyingi nnyo |
|
257 |
|
abamu abatunda ebyokulya byoku kkubo tebabibikkako ne kugwako ensowera |
|
258 |
|
akaveera ke yaguze kaabadde ka luwewere nnyo |
|
259 |
|
okusabiriza kikolwa nnyo mu baana naddala abato |
|
260 |
|
naye lwaki abasomesa basasulwa omusaala mutono ate ne gulwayo |
|
261 |
|
yaleeta ebintu bitono nnyo era ne tumumma omukazi |
|
262 |
|
ensomesa eno si nnungi nnyo eri abayizi abamu |
|
263 |
|
mulekere awo okuwoggana kubanga muli bantu bakulu ekimala |
|
264 |
|
taata wange alina ssente nnyingi |
|
265 |
|
ekisinga obukulu nti naawe osomye era obitegedde |
|
266 |
|
ekiseera kino abantu mu byalo bali mu nnimiro |
|
267 |
|
musobola okulya emmere eyo yonna ne mugimalawo |
|
268 |
|
mukyala wange yeewuunyizza ebyo bye namugambye eggulo era akedde kubimbuuza |
|
269 |
|
okuteeka olukomera ku mbuzi zo we ziri kiyamba nnyo obutaliibwa bisolo byemabbali |
|
270 |
|
omukubi webyuma mu kwanjula yabadde amanyi okwogeza obulungi ebyuma bye |
|
271 |
|
ekizimbe kino wakizimbira ssente mmeka |
|
272 |
|
sisobola kukkiriza mwana wange kwebaka nga talidde |
|
273 |
|
wali olinnyeeko ku nnyonyi bukyanga ozaalibwa |
|
274 |
|
twayombaganye ne mukyala wange nga entabwe eva kukulwawo kujjula mmere |
|
275 |
|
genda olabe oba omukyala gwe nnakutumye akomyewo |
|
276 |
|
omwana oyo alina empisa |
|
277 |
|
abaana baatolose ku ssomero nga asikaali yeebase |
|
278 |
|
buli yeesimbyewo ayimirireko tumulabe |
|
279 |
|
obadde okimanyi nti omwezi ogwokubiri guba nennaku abiri mu mwenda oluvannyuma lwemyaka ena |
|
280 |
|
mu bintu ebireetera omuntu obulabe mwe muli ensiri eziruma omuntu ne zimuleetera obulwadde |
|
281 |
|
kuva buto nga nnyumirwa nnyo okulunda obumyu |
|
282 |
|
buwooteeri obumu olina kwetuukira awatundirwa ebyokulya okusobola okkukolako amangu |
|
283 |
|
abagoberezi ba kirisitu bakedde mu masinzizo olwaleero |
|
284 |
|
amazzi amafumbe gawonya ennyoota okusinga agatali mafumbe |
|
285 |
|
mwana ki asinga obwesigwa mu baana bo |
|
286 |
|
lwaki nkubuuza ebibuuzo nga toyagala kuddamu |
|
287 |
|
ekimeeza kino kirungi nnyo |
|
288 |
|
lwaki abantu abasinga baagala nnyo okugenda ebweru |
|
289 |
|
omufaaliso guno mulungi nnyo okwebakako |
|
290 |
|
nakato gwe ayoza ebintu bye tunywereddemu ccaayi |
|
291 |
|
funayo waakiri ekipapula ekikwogerako |
|
292 |
|
enkola yokutwawulamu abayizi nabasomsesa nnagisiima |
|
293 |
|
obulwadde bwa sukaali buluma nnyo okukira hepatitis b |
|
294 |
|
abaana abasinga balemwa okukula obulungi olwensonga nti bakuluusanyizibwa |
|
295 |
|
entandikwa ya buli kimu si ssente wabula mutwe gwo |
|
296 |
|
abasajja abasinga obungi baagala abakyala abasukka mu omu |
|
297 |
|
eggulo olubuto lwannumye nnyo ekiro |
|
298 |
|
omunnyo guyitiridde mu nva |
|
299 |
|
oteekeddwa okukimanya nti amaanyi gali mu mikono gyo |
|
300 |
|
okusookera ddala neebaza ne ssekwebaza omulungamya wange olwokumpa obudde nokuntereeza mu bye mpandiise |
|
301 |
|
buli lwolemera ku kintu kyoyagala omala nokiggyamu ekiramu |
|
302 |
|
kirungi oyogere nga ddala omanyi bulungi kyogenda okwogerako |
|
303 |
|
okulya amawolu buli lunaku kyaleetera omwana wa mulirwana okugejja olubuto |
|
304 |
|
njagala nkwambaze kali akasaati kuba kalungi |
|
305 |
|
mukwano gwange agenda nakunyumiza ekika kyomukazi gwayagala okuwasa nga mu butuufu tannazaalibwa |
|
306 |
|
lwaki wano tetulinaawo kitabo kya bagenyi mwe tulina okuwandiika nga tutuuse |
|
307 |
|
mu kavuvungano konna akabaddewo teri ayogedde ku ngeri abatalina waabwe gye banaayambibwamu |
|
308 |
|
okimanyi giweze emyaka musanvu bukyanga tuva ku yunivaasite |
|
309 |
|
baamusiba okumala emyaka mukaaga lwa kubba nte za taata we |
|
310 |
|
omwana bwe yabuuzibwa maama we ku kyokwoza kaabuyonjo yaddamu nti takirinaamu buzibu |
|
311 |
|
ndabyeko amaka agabadde amalungi nga gali ku musaala bwe gatandika okusabiriza |
|
312 |
|
eh tufudde omuntu omukulu abadde alingiza omukyala anaabira mu kinaabiro |
|
313 |
|
naye okimanyi nti ensibuko yakawuka ka corona ekyatankanibwa na kati |
|
314 |
|
mu ndwadde ezisinga okutawaanya muwogo mwe muli mosaic ne rot |
|
315 |
|
ntuuse ku nnyumba gye yansindikra mu kifaananyi nti yange nga mulimu abagirimu |
|
316 |
|
ekkovu lirabika nga lyayise wano |
|
317 |
|
ekyo kyali kirungi nnyo era nakisiima nnyo |
|
318 |
|
omuyizi eyagwa mu kidiba ekiwugirwamu bazadde be basabye essomero libaliyirire |
|
319 |
|
oluvannyuma lwokugoba maama wabaana bange ensi yanfundirira |
|
320 |
|
mugire tutunuulire ebintu bino tubeeko kye tubyogerako |
|
321 |
|
olunaku luyinza okukya ku makya nga gwe nannyini wano |
|
322 |
|
amawulire agabadde ku laadiyo ogawulirizza |
|
323 |
|
ebivvulu bye ebisukka mu bikumi ebitaano byonna biwereddwa |
|
324 |
|
omwana alinnye omuti gwa ffene navaayo nagwa |
|
325 |
|
teriiyo kintu kibi nga kusanga nga omulenzi gwobadde ogenda okwanjula omulinako oluganda |
|
326 |
|
mubeere bayiiya nnyo okuva mu kukozesebwa kuba tekugaggawaza |
|
327 |
|
amabaati gennyumba eyo galabika bulungi |
|
328 |
|
amasiga okwatuziddwa entamu erimu emiwumbo gyemmere omusanvu gaguddemu |
|
329 |
|
olina abaana bameka |
|
330 |
|
omwezi bwe gwakuba ekoona olwo mba nsigalidde kulya capati na bijanjaalo |
|
331 |
|
omutima gwange gwonna nnagukuwa |
|
332 |
|
lwaki abantu bakyusizza obuufu ne bava ku kulima muwogo ne badda ku birime ebirala |
|
333 |
|
ono ye bamungamba nti tasosola mu mawanga |
|
334 |
|
mu ndabirira ya muwogo olina okukoola mu wiiki ssatu oba nnya oluvannyuma lwokumusimba |
|
335 |
|
abakazi baalwanaganye lwomu ku bakyala okwagala omusajja oli gwe yayagala ko |
|
336 |
|
obutabo obuyigiriza abantu okukozesa ebintu ebiguliddwa buteekebwe mu nnimi ennansi |
|
337 |
|
namala mu ddwaliro emyezi ebiri nga nzijanjaba lubuto lwa butafaayo kumanya bye nnywa |
|
338 |
|
endabirwamu yange yagudde nga ngiggya ku kisenge |
|
339 |
|
okimanyi nti emiziro egimu mu ggwanga giriibwa |
|
340 |
|
olunaku lwe wava wano twali tumanyi gwe atutte ekitabo |
|
341 |
|
mutabani we asomera makerere |
|
342 |
|
mbaliraamu mu ssente ezo olabe oba ziwera |
|
343 |
|
effujjo eryakolebwa abayizi ba yunivaasite mu misinde terikkirizibwa |
|
344 |
|
ekyama kiri mu kwagalana nokukolera awamu |
|
345 |
|
tosooka kkuwuuliriza nsonga za mwami oyo ngomukyala tannakuwa ndowooza ye |
|
346 |
|
nsuubiza munnange nti tolindekawo ne bwe nnaaba njavuwadde |
|
347 |
|
tosirikira mize ngogirabye mu bantu wandiba oyina bosobola okutaasa |
|
348 |
|
abasawo bekinnansi bassa eddagala lyabwe mu macupa |
|
349 |
|
yitira wano tugende ffenna |
|
350 |
|
abapangisa ennaku zino tebalina ssente |
|
351 |
|
ate nno oba okyatenda essimu ne baleeta akuuma akateekako essimu omuliro |
|
352 |
|
omukazi oyo atuukidde mu kitiibwa kya maanyi nnyo |
|
353 |
|
weewalenga emikwano emibi |
|
354 |
|
teekawo emikono ebiri osobole okulembeka ebinyebwa ebiwera |
|
355 |
|
kyokka abasawo abajja ku mulimu nga batamidde bakusobera |
|
356 |
|
omulwadde yenna asanga obuzibu bwakozesezza eddagala mu ngeri etaamugambibwa |
|
357 |
|
ku lwomukaaga ngenda mu kyalo |
|
358 |
|
olwokwagala okubuzaabuza mukama we kye yava ayimirira omulundi gumu |
|
359 |
|
amazaalibwa go gabeerawo mu mwezi ki |
|
360 |
|
ani yaleese ekimuli kino |
|
361 |
|
nze nnina ekirooto kinene era luliba olwo ne kituukirira |
|
362 |
|
okimanyi nti buno obugulumo bwe bateeka mu makubo nabwo bwonoona emmotoka |
|
363 |
|
omusango gwe yawaaba mu kkooti na kati tegunnasalwa |
|
364 |
|
ekikolo kya muwogo kino kiriko muwogo mungi |
|
365 |
|
ndi musanyufu nnyo olwomwana wange okutandika okusoma |
|
366 |
|
nja kusaba ontegezeeko singa oyagala obuyambi bwange |
|
367 |
|
abavubuka balina okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina amaanyi |
|
368 |
|
okusooka buli muntu yali amanyi nti omusajja oyo tazaala naye kati alina abaana basatu |
|
369 |
|
abomukwano abaali ababiri ku ssomero lyaffe kati tebakyakolagana |
|
370 |
|
tukoze tutya okukendeeza ku baana nabakyala abafiira mu ssanya |
|
371 |
|
weegomba omuntu alya akawunga bulijjo |
|
372 |
|
abateesa ku biteeso ebyo si birungi nnyo |
|
373 |
|
omukwano gwennaku zino gwa kuvujjirira ssente |
|
374 |
|
obusaanyi bwalya ebikoola byonna |
|
375 |
|
obudde buno sisuubira muntu kubeera nga yeebase |
|
376 |
|
ani ateekeddwa okukola omulimu guno |
|
377 |
|
ebintu bino yabisoma era abimanyi nnyo |
|
378 |
|
mwana gwe togenda mu ttooyi zabasomesa |
|
379 |
|
onookomawo budde ki okundabako |
|
380 |
|
omulundi gwe nnasooka okujja wano nnasooka kubula |
|
381 |
|
gamba taata atuleetereyo ku munnyo nga akomawo |
|
382 |
|
abasajja abatagendako safaali bamenya |
|
383 |
|
akalowoozo akatono nga kabi ku kintu kayinza okukulemesa okukikola ne bwoba wa kukifunamu |
|
384 |
|
gwe bangatta naye mu kkanisa yansuulawo mu myezi ebiri |
|
385 |
|
mukadde wange musaasanyirizaako ssente nnyingi mu bulwadde |
|
386 |
|
ekyaana ekito ekirungi bannange ekinyuma okusitula |
|
387 |
|
waliwo ekintu ekinnumya omutwe ennaku zino |
|
388 |
|
eddagala kitegeeza ekintu ekinywebwa oba ekiriibwa nga kigendereddwamu kulongoosa bulamu bwomuntu oba ekisolo |
|
389 |
|
leero ogenda kwambala lugoye ki nga ojja |
|
390 |
|
engeri omwana omuwere gye yalwadde kanya kumuyonsa |
|
391 |
|
obuvune obwa maanyi bwetaaga amagezi nobukugu bwomusawo wekinnansi okuzuula kwe buva |
|
392 |
|
maama wange omuto yagudde mu batemu katono bamutte |
|
393 |
|
olowooza abasajja okuzaala ebweru kirina obuzibu |
|
394 |
|
okulemererwa okugenda e bulaaya kyannuma nnyo kuba nali neesunze ennyonyi |
|
395 |
|
omuntu gwe nali simanyi ye yantaasa kyokka nga be mmanyi tebanfuddeeko |
|
396 |
|
essomero lintamye lwa baana abo kuntulugunya |
|
397 |
|
omukazi alimye okumala emyaka etaano abeera atunulanga wataano |
|
398 |
|
kyewuunyisa okusasula akakadde kensimbi ku ssomero ate ne bakusaba nobusawo bwa ssementi butaano |
|
399 |
|
abantu bokuwasa bwe bambula nga mpasa oyo |
|
400 |
|
abalimi balina okufaayo ennyo ku birime byabwe |
|
401 |
|
ssentebe yagumizza abantu nti bagume kino si kyekirwadde ekisoose okubalukawo |
|
402 |
|
nze nnalwawo okumanya nti omukulembeze oyo teyasoma |
|
403 |
|
omuntu yenna ayagala okuva mu bwavu asobola okulima muwogo nafunamu ensimbi |
|
404 |
|
waliwo essuubi nti abantu abamu ku baakwatibwa ekirwadde kya corona bagenda kussuuka |
|
405 |
|
omusuubuzi oyo mugagga nnyo |
|
406 |
|
naleeta akasowaani katono ku ssomero emmere gye bampa temmala |
|
407 |
|
olina kukola masomo ga saayanseezi okusobola okufuuka omusawo |
|
408 |
|
mu kusooka nali mmanyi nti buli gwe basiba abeera nomusango |
|
409 |
|
omulunzi wenjuki era yatugambye nti nga banaawakula basooka kunyookeza enjuki ezimu ne zifuluma |
|
410 |
|
omusuubuzi alina ssente nnyingi |
|
411 |
|
gwe waakalaba abantu bameka abalya ebibala ebyo |
|
412 |
|
teri mukulembeze ayagala kugabana buyinza na mulala |
|
413 |
|
emyaka ebiri gye namala ku kyeeyo mu buwalabu gyangigiriza okukola ennyo |
|
414 |
|
gwe olowooza nze nnabadde ssaagala kuwasa mukazi oyo |
|
415 |
|
olukwe oluyitiddwamu okumuggya mu ntebe lubadde luzibu nnyo |
|
416 |
|
ku babiri abo ani asinga okukola mu kibiina |
|
417 |
|
osobola okumpandiikira ekintu kyonna kyoyagala nze ne nkikuwa |
|
418 |
|
ennyambala yabayimbi abamu ennaku zino esaana kuwerebwa |
|
419 |
|
baamukuba embooko nnyingi nnyo era ne zimuviirako okufa |
|
420 |
|
si kirungi kusimba muwogo mu bifo ebirimu omujjuzo gwamazzi |
|
421 |
|
lwaki wasalawo okusoma obusawo notasoma busomesa nga nze |
|
422 |
|
ku lunaku lwabakyala onaabaawo oba tobeewo |
|
423 |
|
mukwano gwange yangambye nti abaana babaavu bayina omukwano mungi eri bakadde baabwe |
|
424 |
|
olowoooza ssente mmeka ezigula sanduuko ennungi |
|
425 |
|
okusomesa nakuvaamu oluvannyuma lwobutansasula musaala gwange gwe nali nkoledde |
|
426 |
|
wonna wosazeewo okulundira embuzi mbu walina okuba ngentambula yaawo nnyangu |
|
427 |
|
bali abalala batunula butunuzi |
|
428 |
|
engatto ya kanvaasi yesinga okunyumira ku mpale eno |
|
429 |
|
mpaayo amannya waakiri ataano agabakulembeze mu kitundu kino |
|
430 |
|
ekiwato kyomuyimbi oli kigonda nnyo kyova olaba nga azina nnyo |
|
431 |
|
omukulu wessomero gwe baakakyusa okudda mu lino mukambwe nnyo |
|
432 |
|
lwaki akatabo ako toyagala kukasoma |
|
433 |
|
buli maka gasaanye gasimbenga eddagala okusobola okwejjanjaba |
|
434 |
|
nze mbadde nsuubira nti ofuneyo ku kirowoozo ekirala |
|
435 |
|
okumanyagana kwetaagisa okusobola okutaasa abooluganda okwezaalamu |
|
436 |
|
naye ddala mu kutya katonda amagezi mwe gasookera |
|
437 |
|
temusaanidde kutwalira mateeka mu ngalo bwe mutyo |
|
438 |
|
abalungi ndabye bangi naye mpulira sibaagala |
|
439 |
|
sitera kwesiga bantu naye gwe nkwesiga ekigenze ewala |
|
440 |
|
gavumenti ekubiriza nnyo abantu okwettanira ebyobulimi |
|
441 |
|
bwofuna omuzinga nogusiba ku muti enjuki zijja kugujjamu era otandikire awo okulunda |
|
442 |
|
omukazi oyo aweereza bulungi pulogulaamu eyo |
|
443 |
|
siyinza kugenda waka nga sitwalidde maama wange ttooke |
|
444 |
|
taata wange yasongera kojja wange gyateeka obuwangwa bwensolo zatta |
|
445 |
|
obuyonjo bwetaagisa nnyo mu kiseera nga kino |
|
446 |
|
obwedda alabiriza muliraanwa ayingire mu nnyumba olwo alyoke abbe engoye ku waya |
|
447 |
|
omusajja yasimba emiyembe yiika nga kikumi era sizoni bwetuuka ayoola ensimbi |
|
448 |
|
abavunaanyizibwa ku bisolo bagaanye okuwuliriza omulanga gwaffe |
|
449 |
|
atalina maanyi okimanyi nti tagwa ddalu |
|
450 |
|
kabaka wa buganda yalondebwa okubeera omusaale mu kulwanyisa mukenenya |
|
451 |
|
neewunya ensi yaffe okuba nga abantu tebakyakola naye oli nayongeza ebbeeyi yebintu |
|
452 |
|
mpitiraako kwoyo owenjala bambi ansale ku njala |
|
453 |
|
ondeeterayo omubisi gwenjuki |
|
454 |
|
abayimbi abasinga ettutumu beebo abayimba ku mukwano |
|
455 |
|
yali tasaana kugoba mukazi oyo kuba baali bavudde wala |
|
456 |
|
bwoba wakukulaakulana kikwetaagisa okutereka ensimbi osobola okuzisiga |
|
457 |
|
ssemaka bamukutte lubona nga abba emmere ya mutuuze munne |
|
458 |
|
ekibala kino kiwooma nnyo era nze ndowooza nti tukigule |
|
459 |
|
enkuba ekedde okutonnya etaataaganyizza entambula yange |
|
460 |
|
omukubiriza wolukiiko olwo abadde ne kyekubiira |
|
461 |
|
sirina nnyo buzibu bwe nnafuna nga ndi lubuto |
|
462 |
|
bwe nnamugamba tetuzaala bangi nalemwa okukitegeera |
|
463 |
|
ekikulu kiri nti buli muntu alina obuyinza okwesalirawo |
|
464 |
|
ebitundu ebimu tebinnafuna kawunga ka gavumenti |
|
465 |
|
omusajja eyabadde andeetako yankoledde ekisa kingi nnyo |
|
466 |
|
akanyonyi kayingidde mu kibiina nga tusoma |
|
467 |
|
tugenda kusimba bummonde buzungu |
|
468 |
|
bwe nzijukira ebiwanuzibwa ku mumpembe eyasalangako bantu banne emimwa bineewuunyisa |
|
469 |
|
gwe wandisirise notayogera kuba wanyiizizza dda |
|
470 |
|
bwobeera nabakyala abassuka mu omu mu bufumbo omu bwakunyiiza ngowummulira ewomulala |
|
471 |
|
enkuba etonnya buli lunaku |
|
472 |
|
okufa lugendo era olutambula bwomu |
|
473 |
|
endwadde zizze zibeerawo mu nsi naye bambi obulwadde buno butta bubi |
|
474 |
|
abantu abaalemererwa era abalina endowooza enkyamu balowooza nnyo naye bakola kitono |
|
475 |
|
obuyonjo kimu ku bintu ebisuubirwa mu muvubuka owomulembe omutebi |
|
476 |
|
akaseera kano waliwo abantu abamu nga beebase |
|
477 |
|
simanyi oba nsobola okumusonyiwa |
|
478 |
|
nnasazeewo okusiba ennyama kuba eddiini tekigaana |
|
479 |
|
baalagaanye kusisinkana wano naye omu olutuuse ate poliisi nemukwata |
|
480 |
|
olowooza obuzibu bwekyuma kino buva ku ki |
|
481 |
|
waliwo ttiimu egudde ku kabenje era bamu bafiiriddewo |
|
482 |
|
nfunyemu nnyo mu kwegatta kwabalimi kuba nsobola okubuuza ebibuuzo |
|
483 |
|
nze ngenda okuba nga mbasomesa olulimi oluganda mu lusoma luno |
|
484 |
|
ekigatto kino nga kirungi kya mmeka |
|
485 |
|
buli lwoliraana omuntu akusingako mu buli kintu obaako kyoyiga |
|
486 |
|
omukazi eyabuuzizza bye bafumba mu kawooteeri baamusongedde ku kisenge |
|
487 |
|
obuyaaye bubi naye ate abantu abamu babufunyeemu |
|
488 |
|
okuwasa omukazi mu bufumbo obutukuvu kirungi kuba abaana bammwe babeera batukuvu |
|
489 |
|
naye nga onzunzizza nnyo |
|
490 |
|
omutwe bwe gubeera gukuluma fuba okulaba nga omira eddagala |
|
491 |
|
tugende ku dduuka tufuneyo ku byokulya |
|
492 |
|
omulimu gwokuwandiika emboozi gugenda guzibuwala era gwandinnema |
|
493 |
|
amaduuka agatunda ebintu ebifaanagana gabeera geeriraanye |
|
494 |
|
omuyizi yabuuzizza omulunzi wenjuki ebizibu ebiri mu kulunda enjuki |
|
495 |
|
naye okimanyi nti ensibuko yakawuka ka corona ekyatankanibwa na guno gwaka |
|
496 |
|
nsobola okutunda embuzi nga amakumi abiri buli wiiki |
|
497 |
|
amasomero agamu tegawa maanyi kusomesaamu |
|
498 |
|
oyina kutereeza eriyo eyo tusobole okufuna ekifaananyi ekirungi |
|
499 |
|
nze ku lunaku olwo nnakizuula nti okwerabira kya buntu |
|
500 |
|
omwana oyo yansobera tanaaba mu ngalo ngava mu ttooyi |
|
501 |
|
sisobola kkwata bye nsoma mu mutwe nga ntaddeko laadiyo |
|
502 |
|
abayizi abamu basaakiriza nnyo banaabwe basobole okulwana |
|
503 |
|
twasembayo kulabagana ku lunaku lwe twazannya omupiira |
|
504 |
|
tubeebaza nnyo olwebyo byonna bye mutukoledde |
|
505 |
|
edda nali njagala nnyo okulya obunyama bwoku kkubbo naye nga bulumya olubuto |
|
506 |
|
waliwo ebiseera bye weetaaga ssente naye nga toziraba |
|
507 |
|
ssaagala ogeraageranye bintu byotamanyi |
|
508 |
|
bwe mmalirizza okuwaayo empapula zange ne mpulira ngobulamu bukomyewo |
|
509 |
|
okuteekateeka okulonda kyetaagisa ensimbi nnyingi nnyo |
|
510 |
|
mwebale nnyo okumpuliriza bakulu bannange |
|
511 |
|
gavumenti bwerivaayo neyongera amaanyi mu tteeka lyebiyiiye abayiiya balitandika okubifunamu |
|
512 |
|
baali balowooza nti nakoma naye mukama nankwatirako ne nzira engulu |
|
513 |
|
omwenge omungi mubi nnyo |
|
514 |
|
lwaki weewola ssente nga tolina nteekateeka gyozikoledde |
|
515 |
|
osobola okusomesa eddiini mu ssomero |
|
516 |
|
ttaano |
|
517 |
|
musanvu |
|
518 |
|
ye |
|
519 |
|
emu |
|
520 |
|
mukaaga |
|
521 |
|
bbiri |
|
522 |
|
munaana |
|
523 |
|
nedda |
|
524 |
|
ssatu |
|
525 |
|
abaana bano babadde bawoggana |
|
526 |
|
omwana oyo yali musiru mu kibiina naye kati mugagga |
|
527 |
|
mwenda |
|
528 |
|
nasindika ssente ku ssimu yange naye tezaatuka |
|
529 |
|
omubaka bukyanga alondebwa tateesangayo wadde ekiteeso ekimu |
|
530 |
|
nteraako emmere ntono nnyo kuba gye tuva tusoose kulya |
|
531 |
|
yagenda okuyingira ekidaala nga buli muntu amulinze |
|
532 |
|
oba lwaki omuntu bwakuyisa obubi naawe nomuyisa bubi anyiiga nnyo okukusinga |
|
533 |
|
ndi musajja mukenkufu nnyo asaanira okuweebwa omulimu wano |
|
534 |
|
ekifuba ne ssenyiga bisumbuwa nnyo mukazi wange |
|
535 |
|
naye mu butuufu bbaasi bwe zirijja nga bwe batusuubiza omujjuzo gujja kukendeera |
|
536 |
|
naye mu butuufu abavuzi ba booda booda bagobebwe mu kibuga |
|
537 |
|
ebintu naddala engoye bisaana kuba nga si bya buseere |
|
538 |
|
enkuba bwetonnya ate omuntu ne yeeraliikirira ebisooto |
|
539 |
|
gamba omukazi oyo atuwe emmere |
|
540 |
|
tekinologiya ayonoonye abantu |
|
541 |
|
essowaani evudde ku mmeeza negwa wansi naye teyatise |
|
542 |
|
obadde olowooza nti neerabidde nti nkubanja ssente zange |
|
543 |
|
wabula omulembe gugenda gukyuka buli lukya kati osobola okugula amasannyalaze ku ssimu |
|
544 |
|
bwobeera ku mikutu gi mugattabantu si kyangu kumanya kituufu |
|
545 |
|
ennaku zino ssennyiga mungi nnyo mu bantu |
|
546 |
|
munnabyabufuzi asaanidde okuba omuntu omwesimbu |
|
547 |
|
omwana ono gwe amwonoonye kuba yali mwana mulungi |
|
548 |
|
oteekeddwa okumanya eddaala lyoliko buli wantu wobeera |
|
549 |
|
omwana muzibe yeewuunyisizza nnyo abazadde bwe yasunye obulungi endongo |
|
550 |
|
mukyala wange afumba eka teyali mwangu nga mmukwana |
|
551 |
|
ettaka lya buseere ennaku zino |
|
552 |
|
nze naawe obulamu bubeera bunnyumira nnyo |
|
553 |
|
njagala ntambuleko nsobole okugenda ku masomero agali akumpi wano |
|
554 |
|
kyewuunyisa nti amin yawolako ensi za buwarabi ensimbi okwekulaakulanya |
|
555 |
|
nze nali sinnaba kukola kintu kyonna ku ssomero lino |
|
556 |
|
ekire kyenkuba kikedde kutonnya era ne kireeta empewo mu kibuga |
|
557 |
|
omulimi emiti gya muwogo gyagenda okusimba agitereka ewatali musana ate nga wakalu |
|
558 |
|
abantu abamumanyi batono nnyo era tasobola kuwangula kalulu |
|
559 |
|
olugero luno luggwayo lutya |
|
560 |
|
engeri omusomesa oyo gyawandiikamu yandibadde musawo kuba be bawandiika obubi |
|
561 |
|
eyo essaati singa osalawo okugigula nnange nkusasulirako |
|
562 |
|
lwaki abantu abatta bannaabwe tebaweebwa bibonerezo bikakali |
|
563 |
|
olaba ne mugandawo taata ne maama nga yomu akutta olwo mukwano gwo |
|
564 |
|
omululu kintu kibi nnyo |
|
565 |
|
enviri kye kitiibwa kyabakyala |
|
566 |
|
musaanidde mulekere awo okunnyooma kuba si kirungi |
|
567 |
|
gendako e kampala olabe abantu bwe batuuyana okufuna ssente ekiro nemisana |
|
568 |
|
mpulira nga neesunze okuwulizaako okuva gyoli |
|
569 |
|
njagala okutuusa obweyamo bwange eri abasomesa bange nti nja kukyusa empisa zange |
|
570 |
|
ogusajja ogwo sigwagala naye guneesibako |
|
571 |
|
embeera yobwavu yansindiikiriza okuyingira mu magye |
|
572 |
|
nsonga ki ekuviiriddeko okukola otyo emirimu |
|
573 |
|
ekikopo ekyo wandibadde okiggyawo wansi awo |
|
574 |
|
omukulembeze abeera kyakulabirako |
|
575 |
|
waliwo eyamenye ennyumba yange nabba ebintu byange ebyomugaso |
|
576 |
|
lwaki togendako mu ssinzizo ne weenenya ebibi byo |
|
577 |
|
omukulembeze aweze entambula eyolukale okuva nolunaku lwenkya |
|
578 |
|
naye ate nsuubira nti tusaanidde okweyisiza obulungi ku bantu |
|
579 |
|
weebale nnyo emirimu gyokola |
|
580 |
|
amasinzizo nno agasinga gaggaddwa olwekirwadde ekya corona |
|
581 |
|
waliwo nno abenzikiriza mu ggwanga lyaffe abalowooza nti osobola okusaba obusabi obulwadde ne bugenda |
|
582 |
|
omukulembeze weggwanga afaayo eri abantu be |
|
583 |
|
enkoko erwanaganye nekinyonyi nga kitwala akaana kaayo |
|
|