Luganda
stringlengths 3
854
| English
stringlengths 2
1.02k
|
---|---|
EBIGAMBO BY’EKISAWO MU LUGANDA | LUGANDA MEDICAL AND ARTISANS’ TERMINOLOGIES |
ENNYANJULA | INTRODUCTION |
EMPULIZGANYA kikulu nnyo mu mpeereza y’emirimu, naddala mu bujjanjabi | COMMUNICATION is very vital in services delivery, especially in the medical sector. |
Aboogezi b’Olulimi Oluganda bangi balina amannya Amaganda agayitibwa endwadde ezitali zimu kyokka nga gakaluubirira abajjanjabi bangi ne batamanya bulwadde buba bwogerwako ate nga n’abalwadde bakaluubirirwa okugazza mu lulimi Olungereza oba olusawo abajjanjabi basobole okutegeera. | Native Luganda speakers have names associated with different diseases but many medical practitioners cannot relate these terms to the medical terminologies for these diseases and this usually may lead to misunderstandings between patients and medical services providers |
Endwadde endala abasawo bazoogerako mu lulimi lw’ekisawo, abalwadde lwe batategeera so ng’endwadde ezo zennyini zirina amannya mu lulimi Oluganda era nga ssinga omusawo g’akozesezza omulwadde yandyongedde okutegeera ekimuluma. | The vice versa is also true where medical services providers use terminologies for diseases which patients fail to relate to whereas they have equivalents in their mother tongue which they would relate to and therefore have a better understanding of their medical conditions. |
Okutumbula empuliziganya wakati w’abalwadde n’abasawo, akakiiko ka Luganda/ Lusoga/ Lugwere Vehicular Cross-border Language Commission kye kavudde kawandiika ekitabo ekinnyonnyola ebigambo by’ekisawo mu lulimi Oluganda n’ekigendererwa ky’okwanguyiza abalwadde, abajjanjabi n’abayiga obujjanjabi okwongera okutegeera amannya g’endwadde ezitali zimu mu Luganda era n’ebizikwatako mu bufunze | By compiling medical terminologies and their Luganda equivalents and meanings, the Luganda/ Lusoga/ Lugwere Vehicular Cross-border Language Commission aims at easing communication between patients and medical service providers, and also supporting teaching and learning in the medical field for the students and teachers in the Luganda speaking areas. |
Ebigambo bino bifuniddwa okuva mu boogezi b’olulimi, okuva mu mawulire ate ennyinnyonnyola yaabyo n’eggyibwa mu basawo abakugu n’abajjanjabi. | The words are a compilation from Luganda speakers, from health news in the media and from medical practitioners who have also given manings to these medical terminologies. |
EBISOOKERWAKO | FOREWORD |
BAJJAJJAFFE baamanya nti emmere n'ebimera ebitwetoolodde ddagala. Baamanya nga bwe balya obulungi, ne bafuna amazzi amalungi, ne bafuna empewo ennungi, ng’omuntu aba mulamu, era awona obulwadde obuba bumuzinze. Enzijanjaba eyaffe ey'edda twagidibya nga tufunye abagenyi abaatukyayisa ebyaffe. Kale omulimu ogukomyawo okumanya amannya g'endwadde n'eddagala bye twali tumanyi kirungi nnyo. Twafuna ebigambo ebitaali bya Luganda naye nga bituyigiriza enzijanjaba ey'omulembe n'okukola emirimu egy'enjawulo mu Luganda. Kale ebigambo ebyo bwe tubiyiga mu Luganda kijja kwongera okufuna obukugu obw'emirundi ebiri, enzijanjaba engwira n'eyaffe ey'edda. Kirungi abantu ab'enjawulo nabo bongere okunoonyereza mu mirimu egy'enjawulo, tubiwe bannaffe abatandise omulimu guno, tusobole okuba abakugu mu bintu bingi, kyokka nga tusigadde tuli Baganda mu buli nsonga. | OUR ancestors knew that food and plants were medicine. They knew that by eating properly, getting fresh and clean water, and getting fresh air, one gets good health and can fight off invading disease. Our old ways of treating the sick as well as doing different jobs were abandoned when foreigners came and made us hate our culture telling us that it was primitive. Now this great job of bringing back that old Kiganda knowledge of the names of diseases and the drugs that cured them is great. We got foreign words teaching us modern medicine and doing different jobs. When we get our Luganda words relating to and explaining the foreign words, this is a big step to making us experts both in foreign and our old ways of work. It is of utmost importance that different people do research in those terminologies in Luganda and pass them to the group that started this great job of relating the old traditional knowledge with the modern as a way of helping us become experts in different jobs while we remain Baganda. |
Omusawo alongoosa, akola mu Kampala Hospital | Surgeon at Kampala Hospital |
EBIKWATA KU BAWANDIISI | ABOUT THE AUTHORS |
EKITABO kino kiwandiikiddwa bannakakiiko ka Luganda/ Lusoga Lugwere oluvannyuma lw’okukola okunoonyereza mu bantu abatali bamu abakugu b’olulimi Oluganda, n’abakugu mu mirimu egitali gimu omuli abasawo abatendeke mu malwaliro n’abo abajjanjaba mu nkola ey’ekinnansi, abakola emirimu nga obuweesi, obuzimbi n’obwamakanika. | THIS book was written by members of the Luganda/ Lusoga/ Lugwere Vehicular Cross-border Language Commission who compiled terminologies after research and consultations with medical practitioners, artisans, mechanics and selected Luganda language specialists. |
Ebigambo by’ekisawo biwandiikiddwa Margaret Nankinga ne Dr. Adam Kimala omusawo alongoosa owa Kampala Hospital nga bayambibwako Ambrose Kiyingi ng’ono mujjanjabi akozeeko mu malwaliro ag’omu byalo okuli Seeta Namuganga ne Naggalama nga kati asoma diguli mu bwannansi, wamu ne Patrick Katongole asoma eby’eddagala. Bano bombi bali mu yunisite ya Ssaayansi n’amagezi ag’ekikugu (tekinologiya) e Mbarara. | The medical terminologies were compiled by Margaret Nankinga and Dr. Adam Kimala with the support of Ambrose Kiyingi and Patrick Katongole. Margaret Nankinga is a teacher of Luganda, an editor and author, Dr Kimala is a surgeon at Kampala Hospital while Ambrose Kiyingi is a nurse who has worked in rural hospitals; at Seeta Namuganga in Kayunga district and Naggalama Hospital in Mukono district. He is currently doing a degree in Nursing at Mbarara University of Science and Technology. Katongole is a student of pharmaceutical sciences at Mbarara University. |
Ebigambo by’obuweesi bikuaanyiziddwa Joyce Naluggya Tomusange eyakola okunoonyereza mu baweesi b’e Katwe ne Masaka. Naluggya muwandiisi wa butabo mu Luganda. Ebigambo by’obwamakanika byakuaanyizibwa Fred Lukabwe Kisirikko eyakola okunoonyereza mu bamakanika abatali bamu e Kampala ne Masaka. Kisirikko ye Ssentebe w’Ekibiina Ky’olulimi Oluganda ate ebikwata ku kuzimba ne biwandiikibwa Florence Nabacwa eyabinoonyerezaako mu Kampala ne Wakiso. Nabacwa musomesa. | The metalsmiths’ terminologies were compiled by Joyce Naluggya Tomusange, after consulting artisans in Katwe and Masaka. Naluggya is an author of books in Luganda language. The terminologies of mechanics were compiled by Fred Lukabwe, the Chairman of the Luganda Language Soceity after consulting mechanics in Kampala and Masaka. Building and construction terminologies were compiled by Florence Nabacwa after consulting building specialists in Wakiso and Kampala. Nabacwa is a teacher. |
Bisengekeddwa Margaret Nankinga, omukwanaganya w’akakiiko. | Layout is by Margaret Nankinga. |
OKWEBAZA | APPRECIATION |
Twebaza abantu bonna abakoze obutaweera okulaba ekitabo kino nga kifuluma. | Appreciation goes to all those people who supported the compilation and production of this book. |
Twebaza abakugu b’olulimi Oluganda okuva mu yunivasite e Makerere, Uganda Martyrs’ University, Muteesa Royal University, abeebyenjigiriza, bannaddiini n’Abeekibiina ky’Olulimi Oluganda abakkiriza nga tubayise okujja okukubaganya ebirowoozo n’okuwabula ku bigambo bino era okuwabula kwammwe kwe tuzimbidde ekitabo kino. (Olukalala lw’amannya gaabwe luli ku lupapula 55). | Special thanks go to Luganda language specialists from Makerere University, Uganda Martyrs’ University, Muteesa Royal University, educationists, religious leaders and members of Luganda Language Soceity who agreed to participate in the workshop to discuss these terminologies and made contributions which have helped in the production of this book. |
Twebaza abaweesi b’e Katwe, abazimbi ne bamakanika mu Kampala Wakiso ne Masaka abakkiriza okutuwa bye bamanyi ku lulimi lwe bakozesa mu mirimu gyabwe. | We are also grateful to all the medical workers and artisans in Kampala, Wakiso and Masaka who positively contributed to the compilation of the terminologies in this book. |
Twebaza Obwakabaka bwa Buganda obwatuwa ekifo we twakuaanira nga tukubaganya ebirowoozo ku bigambo bino. | We thank the Buganda government for providing us with space to hold our workshop. |
Okwagala n’okwewaayo kwe mwalaga n’amagezi ge mwawa bye bitusobozesezza okufulumya ekitabo kino era tulina essuubi nti omulimu gwe tutandise muli baakugwongerako. | All your contributions and advice contributed greatly to the production of this book and we hope that you will add to the work we have started. |
Ebigambo by’ekisawo | Medical terminologies |
Ebigambo by’okukanika | Mechanical terminologies |
Ebigambo by’okuweesa | Metal artisans’ terminologies |
Ebigambo by’okuzimba | Builders’ terminologies |
Ebisembayo | Appendix |
ESSUULA ESOOKA | CHAPTER ONE |
ESSUULA 1 | CHAPTER 1 |
Entumbi | Volvulous |
Ebinyaanya | Psoriasis |
Sukaali | Diabetes |
Sukaali akwata abakazi abali embuto | Gestational diabetes |
Ssukaali mu bembuto | Gestational diabetes |
Ekyuma ekikyusa eddagala ey’amazzi ne lifuuka omukka | Nebuliser |
Endwadde z’amagumba | Osteopath |
Okuwutta | Dementia |
Obwongo okusanguka | Dementia |
Okubulwa otulo okw’olutentezi | Chronic insomnia |
Kafuuwalususu | Melatonin |
Kakyusamubiri | Circadian rhythm |
Entunnunsi | Cardiac rhythm |
Kaboole | Plaque |
Ekikeeto | Acid reflux |
Kavunzamannyo | Cariogenics |
Kakebejjamabeere | Mammography |
Kisalamabeere | Mastectomies |
Kirongoosabbeere | Mastectomies |
Okwekebejja munda mu lubuto | Laparoscopic investigation |
Entabiro y’obusimu | Coronary plexus |
Omwaliiro gw’obusimu | Coronary plexus |
Obulumi mu ssaabiro | Costoclavicular syndrome |
Enjoka ez’eddumi | Dysmenorrhea |
Kalindamwana | Endometrium |
Kalindamwana omulwadde | Endometriosis |
Akalaakiiro | Diphtheria |
Okutuuma obulwadde erinnya | Diagnosis |
Ekiwato | Pelvis |
Ekizimba | Tumour |
Ekizimba ku bwongo | Choroid plexus papilloma tumour |
Amasaŋŋanzira g’obusimu | Plexus |
Amambulugga | Mumps |
Ebisenge by’amagezi | Hippocampus |
Obusimu bw’amasannyalaze | Neurons |
Akatoffaali k’obusimu | Neural cell |
Akasimu akasabike | Neural Fiber |
Ekisenge ky’obujjukizi | Dentate gyryus |
Obutoffaali obuzimba ebisenge by’amagezi | Hippocampal neurons |
Enkula y’obusimu | Neurogenesis |
Abaserikale b’omubiri | Antibodies |
Akatoffaali nnakizaalizi | Neural precursor cells |
Eddagala erigema okuzaala | Contraceptives |
Kawuuzi w’omubiri | Multiple sclerosis |
Amabwa g’omu bulago | Tonsillitis |
Ssekattabuwuka | Antimicrobial |
Kattabuwuka | Antibiotics |
Eddagala kagemakuzaala | Contraceptives |
Obulwadde kasulikabwongo | Pediatric autoimmune neuropsychiatric disorders |
Situleputokookasi | Streptococcus |
Yinfekisoni | Infection |
Obulwadde bwa situleputokookasi | Streptococcal infection |
Okuvunda kw’omubiri | Sepsis |
Kaleetandwadde | Pathogens |
Entambula y’endwadde | Pathogenesis |
Olukonvuba | Chronic disease |
Ensulo nnamazzi | Lymphatic system |
Oluzzi lw’ensulo nnamazzi | Lymph node |
Kanyonyoogerabusimu | Synesthesia |
Okusimbuliza | Transplant |
Okukussaamu nnabaana | Uterus transplants |
Amagi g’omukazi | Ovary |
Eggi ly’omukazi | Ovium |
Okuggyamu oba okusala ku nnabaana | Hysterectomy |
Obulwadde bw’akazoole | Psychosis |
Omutima okwesiba | Cardiac arrest |
Enfaanana | Physiognomy |
Okusannyalala ekitundu ky’omubiri | Paraplegic |
Okusannyalala oludda | Hemiplegia |
Kookolo (kkansa) w’omu musaayi | Leukemia |
kkansa w’omu musaayi | Leukemia |
Kakyusabwongo | Neuroplastic change |
End of preview. Expand
in Dataset Viewer.
- Downloads last month
- 45